1 Samuel 23:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mugende, mwongere okwetegeka okusingawo; mwekkaanye ekifo w'ali n'oyo abeera amulabyeko, kubanga baŋŋambye nti mukujjukujju nnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mugende mweyongere okwetegereza, mumanye, mulabe n’ebifo gy’atera okutambulira, n’abamulabayo, kubanga bantegeeza nti mujagujagu nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mugende, mbeegayiridde, mweyongere okwetegereza, mumanye mulabe ekifo kye w'abeera n'eyamulabayo, kubanga bambuulira nti alina obugerengetanya bungi nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mugende mweyongere okwetegereza, mumanye era mulabe ekifo w'abeera, n'omuntu amulabye, kubanga bambuulira nti mugerengetanya nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mugende, mbeegayiridde, mweyongere okwetegereza, mumanye mulabe ekifo kye w'abeera n'eyamulabayo: kubanga bambuulira nti alina obugerengetanya bungi nnyo.