1 Samuel 23:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'agenda okumunoonya ne basajja be. Dawudi bwe baamubuulira, n'aserengeta ku lwazi n'abeeranga mu ddungu Mawoni. Sawulo bwe yakiwulira, n'awondera Dawudi mu ddungu ly'e Mawoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sawulo n’abasajja be ne bagenda okumunoonya. Dawudi n’akiwulira, kyeyava aserengeta awali olwazi mu ddungu ery’e Mawoni n’abeera eyo. Sawulo bwe yakiwulira n’agenda mu ddungu ery’e Mawoni okumunoonya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sawulo n'abasajja be ne bagenda okumunoonya. Ne babuulira Dawudi; kyeyava aserengeta awali olwazi, n'abeera mu ddungu ery'e Mawoni. Awo Sawulo bwe yakiwulira, n'agoberera Dawudi mu ddungu ery'e Mawoni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sawulo ne basajja be ne bagenda okumunoonya. Ne babuulira Dawudi. Dawudi kyeyava aserengeta awali olwazi, n'abeera mu ddungu ly'e Mawoni. Awo Sawulo bwe yakiwulira, n'awondera Dawudi mu ddungu ly'e Mawoni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)