1 Samuel 23:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo yagenderanga ku ludda olumu olw'olusozi, ne Dawudi ne basajja be nga bali ku ludda olulala. Dawudi yali ku misinde, ng'adduka Sawulo. Sawulo ne basajja be ne bagenda nga bafumbikiriza Dawudi n'abasajja be babakwate.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sawulo n’ayambukira ku luuyi olumu olw’olusozi, Dawudi ne basajja be ne bambukira ku luuyi olulala, nga banguwa okudduka Sawulo. Naye Sawulo ne basajja be bwe baali nga banaatera okuzingiza Dawudi n’abasajja be,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sawulo n'agenda ku ludda olumu olw'olusozi, nga Dawudi ne basajja be bali ku ludda olulala. Awo Dawudi n'ayanguwa okuvaayo olw'okwewala Sawulo, kubanga Sawulo ne basajja be baali bazingizizza Dawudi ne basajja be enjuyi zonna okubakwata.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sawulo n'agenda ku ludda olumu olw'olusozi, nga Dawudi ne basajja be bali ku ludda olulala. Awo Dawudi n'ayanguwa okuvaayo olw'okwewala Sawulo, kubanga Sawulo ne basajja be baali bazingizizza Dawudi ne basajja be enjuyi zonna okubakwata.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sawulo n'agenda ku mabbali g'olusozi eruuyi, ne Dawudi n'abasajja be ku mabbali g'olusozi eruuyi: Dawudi n'ayanguwa okuvaayo olw'okutya Sawulo; kubanga Sawulo n'abasajja be baazingiza Dawudi n'abasajja be enjuyi zonna okubakwata.