1 Samuel 23:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'akomawo, n'alekayo okuwondera Dawudi, n'agenda okusisinkana Abafilisitiini. Olw'okubeera ekyo, ekifo ne kiyitibwa Sela-Ammakulekoti.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sawulo n’alekayo okunoonya Dawudi, n’agenda okulwanyisa Abafirisuuti. Ekifo ekyo kyekyava kituumibwa Serakammalekosi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sawulo n'alekayo okugoberera Dawudi n'addayo, n'atabaala Abafirisuuti; ekifo ekyo kyebaava bakiyita Serakammalekosi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Sawulo n'alekera awo okuwondera Dawudi, n'addayo okulwanyisa Abafilistiya. Ekifo ekyo kye baava bakiyita Olwazi Olwawula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Sawulo n'alekayo okugoberera Dawudi n'addayo, n'atabaala Abafirisuuti: ekifo ekyo kyebaava bakiyita Serakammalekosi.