1 Samuel 23:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja abaali ne Dawudi ne bamugamba nti: “Olaba kati wano mu Yuda we tuli, tuli mu kutya, leero anaalabisa nga tugenze e Keyila okulumba amagye g'Abafilisitiini?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abasajja ba Dawudi ne bamugamba nti, “Wano mu Yuda tuli mu ntiisa. Naye ate bwe tuligenda e Keyira okulwanyisa Abafirisuuti, kiriba kitya?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abasajja ba Dawudi ne bamugamba nti, “Oba nga na wano mu Yuda tuli mu kutya, kale kinaaba kitya bwe tunaagenda n'e Keyira okulwanyisa eggye ly'Abafirisuuti?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye abasajja ba Dawudi ne bamugamba nti: “Oba nga na wano mu Buyudaaya tuli mu kutya, kale kinaaba kitya bwe tunaagenda n'e Keyila okulwanyisa eggye ly'Abafilistiya?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abasajja ba Dawudi ne bamugamba nti Laba, tutiiridde wano mu Yuda: kale tetulisinga nnyo bwe tuligenda e Keyira okulwana n'eggye ly'Abafirisuuti?