1 Samuel 23:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'addamu okwebuuza ku Mukama; ye n'ayanukula nti: “Situka, genda e Keyila, kubanga nze ŋŋenda okuwaayo Abafilisitiini mu mikono gyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’addayo nate okwebuuza ku Mukama. Mukama n’amuddamu nti, “Golokoka oserengete e Keyira, kubanga ŋŋenda kuwaayo Abafirisuuti mu mukono gwo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'alyoka abuuza Mukama omulundi ogwokubiri. Mukama n'amuddamu nti, “Situka ogende e Keyira; kubanga ndigabula Abafirisuuti mu mukono gwo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi ne yeebuuza ku Mukama nate, Mukama n'amugamba nti: “Situka oserengete e Keyila, kubanga Abafilistiya nja kubakuwa obawangule.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'alyoka abuuza Mukama nate olw'okubiri. Mukama n'amuddamu n'ayogera nti Golokoka oserengete ogende e Keyira; kubanga ndigabula Abafirisuuti mu mukono gwo.