1 Samuel 23:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Dawudi n'agenda ne basajja be n'alwanyisa Abafilisitiini n'abagoba n'anyaga amagana gaabwe. Yakuba bubi Abafilisitiini. Dawudi n'anunula abantu b'e Keyila.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’abasajja be ne balaga e Keyira, ne balwana n’Abafirisuuti, ne batwala ente zaabwe, era ne batta bangi ku bo. Dawudi n’awonya abatuuze b’e Keyira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'abasajja be ne bagenda e Keyira, ne balwana n'Abafirisuuti, ne babatta olutta olunene, ne banyaga ente zaabwe. Awo Dawudi n'awonya abantu be Keyira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi ne basajja be ne bagenda e Keyila, ne balwanyisa Abafilistiya, ne babatta nnyo, ne batwala ente zaabwe. Bw'atyo Dawudi n'awonya ab'omu kibuga Keyila.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'abasajja be ne bagenda e Keyira, ne balwana n'Abafirisuuti, ne banyaga ente zaabwe, ne babatta olutta olunene. Awo Dawudi n'alokola abaatuula e Keyira.