1 Samuel 23:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo ne bamubuulira nti Dawudi agenze e Keyila. Sawulo n'agamba nti: “Oyo Katonda amuwaddeyo mu mikono gyange, kubanga Dawudi yeggalidde mu kibuga okuli enzigi n'emiyingo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sawulo n’ategeezebwa nti Dawudi agenze e Keyira, n’ayogera nti, “Katonda awaddeyo Dawudi mu mukono gwange, kubanga Dawudi yesibiddeyo, bw’ayingidde mu kibuga ekiriko wankaaki ow’emitayimbwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne babuulira Sawulo nga Dawudi atuuse e Keyira. Sawulo n'ayogera nti, “Katonda amugabudde mu mukono gwange; kubanga aggaliddwa munda mu kibuga ekirina enzigi n'ebisiba.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne babuulira Sawulo nti: “Dawudi azze mu kibuga Keyila.” Sawulo n'agamba nti: “Katonda amungabudde, kubanga azingiziddwa, bw'ayingidde mu kibuga ekirina enzigi eziriko ebisiba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne babuulira Sawulo nga Dawudi atuuse e Keyira. Sawulo n'ayogera nti Katonda amugabudde mu mukono gwange: kubanga aggaliddwa munda mu kibuga ekirina enzigi n'ebisiba.