1 Samuel 23:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'akuŋŋaanya eggye lye lyonna, baserengete e Keyila bazinde Dawudi ne basajja be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sawulo n’akuŋŋaanya amaggye ge gonna okweteekerateekera olutalo, n’aserengeta e Keyira okuzingiza Dawudi ne basajja be.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sawulo n'ayita abantu bonna okutabaala, bagenda e Keyira, okuzingiza Dawudi n'abasajja be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Sawulo n'ayita abantu bonna okujja mu lutalo okuserengeta e Keyila, bataayize Dawudi ne basajja be.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Sawulo n'ayita abantu bonna okutabaala, okuserengeta okugenda e Keyira, okuzingiza Dawudi n'abasajja be.