1 Samuel 24:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'agamba Sawulo nti: “Lwaki owulira ebigambo by'aboogezi abagamba nti: ‘Dawudi akunoonya akukole akabi?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Leero okirabye n’amaaso go, Mukama bw’akumpadde mu mukono gwange ng’oli mu mpuku. Wabaddewo ababadde banneegayirira nkutte, naye ne sibawuliriza. Nagambye nti, ‘Sijja kugolola mukono gwange ku mukama wange, kubanga Mukama yamufukako amafuta.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba Mukama bw'abadde akugabudde mu mukono gwange leero nga oli mu mpuku: era wabaddewo abaŋŋambye okukutta: naye nze ne nkusaasira; ne ŋŋamba nti, ‘Sijja kugolola mukono gwange ku mukama wange; kubanga oyo Mukama gwe yafukako amafuta.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwaleero weerabiddeko n'amaaso go nti Mukama abadde akungabudde mu mpuku. Wabaddewo abaŋŋambye okukutta, naye nze ne nkuleka. Ne ŋŋamba nti: Sijja kukola kabi ku mukama wange, kubanga y'oyo Mukama gwe yafukako omuzigo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, leero amaaso go galabye Mukama bw'abadde akugabudde mu mukono gwange leero mu mpuku: era wabaddewo abaŋŋambye okukutta: naye eriiso lyange ne likusaasira; ne ŋŋamba nti Sijja kugolola mukono gwange ku mukama wange; kubanga ye oyo Mukama gwe yafukako amafuta.