1 Samuel 24:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwa leero weerabiddeko ddala wennyini ng'Omukama olwa leero abadde akumpadde eri mu mpuku. Abamu baŋŋambye nkutte, naye nze ne nkusaasira. Ne ŋŋamba nti: ‘Sijja kugololera mikono gyange mukama wange, kubanga musiige wa Mukama.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kitange laba, akatundu ke naggye ku kirenge ky’ekyambalo kyo. Nasaze busazi ku kyambalo kyo naye ne sikutta. Kaakano kitegeere era okimanye nga sikusobyanga newaakubadde okukujeemera. Sinnakusobya newaakubadde ng’onjigganya okunzita.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era, kitange, laba ekirenge ky'ensanze ku kyambalo kyo kikiino mu ngalo zange; kale oba nga nsaze ku kyambalo ne sikutta, tegeera nga tewali kabi kenjagala ku kukola, so ssi kusobyanga newakubadde nga ggwe onjigganya okunzita.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era, kitange, laba! Yee, laba ekitundu ky'ekirenge eky'ekyambalo kyo mu ngalo zange. Kale kubanga nsaze ku kirenge ky'ekyambalo kyo, ne sikutta, kw'oba omanyira era okakase, nti sikulinaako kabi wadde okwagala okukujeemera. Onjigganya okunzita, newaakubadde sirina kibi kye nali nkukoze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era, kitange, laba, weewaawo, laba, ekirenge ky'ekyambalo kyo mu ngalo zange; kale kubanga nsaze ku kirenge ky'ekyambalo kyo ne sikutta, tegeera olabe nga tewali kabi newakubadde ekyonoono mu mukono gwange; so sikusobezza newakubadde ng'oyigganya obulamu bwange okubukwata: