1 Samuel 24:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale, kitange, tunuulira wekkaanye ekirenge ky'omunagiro gwo mu ngalo zange. Nasaze ekirenge ku munagiro gwo naye saakusse. Manya era otegeere nti mu ngalo zange temuli kibi wadde omusango. Sikukolanga kibi, sso ggwe onjigganya onzite.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama alamule wakati wange naawe. Mukama akusasule ng’ebikolwa ebibi byonna by’onkoze bwe biri, naye nze siriyimusa mukono gwange ku ggwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama asale omusango wakati wo nange. Mukama ye aba awooleera eggwanga olw'ebyo by'onkola, naye nze sigenda kukukolako kabi konna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama asale omusango wakati wo nange. Mukama ye aba awoolera eggwanga olw'ebyo by'onkola, naye nze sigenda kukukolako kabi konna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama asale omusango wakati wange naawe, Mukama akuwalaneko eggwanga lyange: naye, omukono gwange teguliba ku ggwe.