1 Samuel 24:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama y'aba atusalirawo. Omukama y'aba awoolera eggwanga olw'ebyo by'onkoze; nze sijja kukukola kabi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ng’olugero olw’ab’edda bwe baalugera nti, ‘Mu babi mwe muva akabi,’ kyendiva sikuyimusiza mukono gwange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ng'olugero olw'ab'edda bwe lugamba nti, ‘Mu babi mwe muva obubi,’ naye nze sigenda kukukolako kabi konna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ng'olugero lw'ab'edda bwe lugamba nti: ‘Omubi ye akola ekibi’, naye nze sigenda kukukolako kabi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ng'olugero olw'ab'edda bwe lwogera nti Mu babi mwe muva obubi: naye omukono gwange teguliba ku ggwe.