1 Samuel 24:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama y'aba alamula, atusalirewo ffembi; atunuulire ensonga zange akutulewo; anejjeereze, anzigye mu mikono gyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, Sawulo n’abuuza nti, “Eryo ddoboozi lyo, Dawudi mutabani wange?” Sawulo n’akuba ebiwoobe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka Dawudi bwe yamala okugamba Sawulo ebigambo ebyo, Sawulo n'ayogera nti, “Lino lye ddoboozi lyo, mwana wange Dawudi?” Sawulo n'ayimusa eddoboozi lye n'akaaba amaziga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo olwatuuka Dawudi bwe yamala okugamba Sawulo ebigambo ebyo, Sawulo n'agamba nti: “Mwana wange Dawudi, ddala ggwe oyogera?” Sawulo n'atema omulanga, n'akaaba amaziga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka Dawudi bwe yamala okugamba Sawulo ebigambo ebyo, Sawulo n'ayogera nti Lino lye ddoboozi lyo, mwana wange Dawudi? Sawulo n'ayimusa eddoboozi lye n'akaaba amaziga.