1 Samuel 24:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi bwe yasirissa okwogera ebyo, Sawulo n'amubuuza nti: “Ddala eddoboozi eryo liryo, mwana wange Dawudi?” Sawulo n'akuba omulanga munene,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’agamba Dawudi nti, “Ggwe oli mutuukirivu okunsinga, kubanga onsasudde bulungi, newaakubadde nga nze nkuyisizza bubi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agamba Dawudi nti, “Ggwe onsinga obutuukirivu; kubanga onsasudde obulungi, naye nze nkusasudde obubi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba Dawudi nti: “Ggwe mutuufu, kubanga onkoledde ebirungi, naye nze ne nkusasulamu bibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba Dawudi nti Ggwe onsinga obutuukirivu: kubanga onsasudde obulungi, naye nze nkusasudde obubi.