1 Samuel 24:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo bwe yakomawo, ng'amaze okuwereekereza Abafilisitiini, ne bamubuulira nti: “Dawudi wuuli mu ddungu ly'e Engedi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sawulo n’alonda abasajja enkumi ssatu okuva mu Isirayiri yenna, n’agenda nabo okunoonya Dawudi n’abasajja be, ku luuyi olw’enjazi embulabuzi gye Zaabeeranga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sawulo n'alonda abasajja enkumi ssatu (3,000) abaalondebwa mu Isiraeri yenna, n'agenda okunoonya Dawudi n'abasajja be ku njazi ez'embulabuzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sawulo n'alonda mu Yisirayeli yonna abaserikale enkumi ssatu n'agenda okunoonya Dawudi ne basajja be, mu kifo kye bayita Enjazi ez'Empeewo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Sawulo n’atwala abasajja enkumi ssatu abaalondebwa mu Isiraeri yenna, n'agenda okunoonya Dawudi n'abasajja be ku njazi ez'embulabuzi.