1 Samuel 24:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale ani yali asanze omulabe we, n'amuleka bulesi agende mirembe? Omukama akuweere olw'okubeera ky'onkoledde olwa leero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano ntegeeredde ddala ng’onoobeera kabaka, era n’obwakabaka bwa Isirayiri bulinywezebwa mu mukono gwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mmanyi nga tolirema kuba kabaka, era ng'obwakabaka bwa Isiraeri bulinywezebwa mu mukono gwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kaakano ntegeeredde ddala nti mazima ojja kuba kabaka, era ng'obwakabaka bwa Yisirayeli bujja kunywezebwa nga ggwe ofuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nno, laba, mmanyi nga tolirema kuba kabaka, era ng'obwakabaka bwa Isiraeri bulinywezebwa mu mukono gwo.