1 Samuel 24:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati ntegeeredde ddala nti ojja kubeera kabaka, nga n'obwakabaka bwa Yisirayeli bugenda kutebenkera mu mikono gyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale nno ndayirira eri Mukama, nga tolizikiriza bazzukulu bange newaakubadde okusaanyaawo erinnya lyange mu nnyumba ya kitange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno kaakano ndayirira Mukama nga tolizikiriza zzadde lyange nga nvuddewo, era nga tolisanyawo linnya lyange ne rye nnyumba ya kitange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nno ndayirira mu linnya lya Mukama nti tolizikiriza zadde lyange nga nvuddewo, era nti togenda kusaanyizaawo ddala linnya lyange n'ery'ab'ennyumba ya kitange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno kaakano ndayirira Mukama nga tolizikiriza zzadde lyange eririddawo, so nga tolimalawo linnya lyange okuliggya mu nnyumba ya kitange.