1 Samuel 24:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati ndayirira mu Mukama nti tolikutulako zzadde lyange oba okusaanyaawo erinnya lyange mu nnyumba ya kitange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’alayirira Sawulo. Sawulo n’addayo ewuwe, naye Dawudi ne basajja be ne baddayo mu kifo gye baali beekwese.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'alayirira Sawulo. Sawulo n'addayo ewuwe ne Dawudi ne basajja be ne baddayo mu mpuku.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'alayirira Sawulo bw'atyo. Awo Sawulo n'addayo ewuwe, ne Dawudi ne basajja be ne baddayo mu mpuku.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'alayirira Sawulo. Sawulo n'addayo eka; naye Dawudi n'abasajja be ne bayambuka mu mpuku.