1 Samuel 24:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'addira enkumi ssatu ez'abasajja abalondobe mu Yisirayeli yonna, n'asitula okugenda okunoonya Dawudi ne basajja be ku lwazi lw'e Yerimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sawulo n’atuuka okumpi n’awaali ebisibo by’endiga ebyali ku mabbali g’ekkubo, n’alaba empuku, n’ayingira omwo okuwummulako. Dawudi n’abasajja be baali mu mpuku omwo mu bifo ebikomererayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sawulo n'atuuka ku mpuku eri okumpi n'ebisibo by'endiga, ku kkubo, n'ayingira omwo okweyamba. Dawudi ne basajja be, baali batudde mu bifo eby'omunda ddala mu mpuku eyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Sawulo n'atuuka ku mpuku eri okumpi n'ebisibo by'endiga, ku kkubo, n'ayingira omwo okweyamba. Dawudi ne basajja be, baali batudde mu bifo ebyomunda ddala mu mpuku eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ajja ku bisibo by'endiga mu kkubo awali empuku; Sawulo n'ayingira okubikka ku bigere bye. Era Dawudi n’abasajja be baali batudde mu bifo eby'omu mpuku ebyakomererayo munda.