1 Samuel 24:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ayitira awaali ebisibo by'endiga. Awo waaliwo empuku; Sawulo n'ayingira omwo okweteewuluzaako; naye nno Dawudi ne basajja be mwe baali munda ddala mu mpuku nga beekukumye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abasajja ba Dawudi ne bamugamba nti, “Luno lwe lunaku Mukama lwe yayogerako bwe yagamba nti, ‘Ndiwaayo omulabe wo mu mukono gwo, omukole nga bw’osiima.’ ” Dawudi n’asooba mpola n’asala ku kirenge ky’ekyambalo kya Sawulo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasajja ba Dawudi ne bamugamba nti, “Luno lwe lunaku Mukama lwe yakugambako nti, ‘aligabula omulabe wo mu mukono gwo, era olimukola nga bw'oyagala.’ ” Awo Dawudi n'agolokoka n'asala ku kirenge ky'ekyambalo kya Sawulo mu kyama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Basajja ba Dawudi ne bagamba Dawudi nti: “Luno lwe lunaku Mukama lwe yakutegeezaako nti agenda kukugabula omulabe wo, omukoleko ky'oyagala.” Awo Dawudi n'asituka n'agenda, n'asala akatundu ku kirenge ky'ekyambalo kya Sawulo, nga Sawulo tategedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abasajja ba Dawudi ne bamugamba nti Laba, olunaku Mukama lwe yakugambako nti Laba, ndigabula omulabe wo mu mukono gwo, era olimukola nga bw'olisiima. Awo Dawudi n'agolokoka n’asala ku kirenge ky'ekyambalo kya Sawulo mu kyama.