1 Samuel 24:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Basajja ba Dawudi ne bamugamba nti: “Luuluno olunaku Omukama lwe yakugambako nti: ‘Ndikuwa abalabe bo mu mikono gyo obakole nga bw'oliba olabye’ ” Dawudi n'asituka n'asala ekirenge ky'omunagiro gwa Sawulo nga tawulira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye oluvannyuma Dawudi n’awulira okulumirizibwa mu mutima olw’okusala ku kirenge ky’ekyambalo kya Sawulo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye oluvannyuma Dawudi n'alumwa omwoyo, kubanga yasala ku kirenge kya Sawulo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye oluvannyuma Dawudi n'alumwa omwoyo, kubanga yasala akatundu ku kirenge ky'ekyambalo kya Sawulo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka oluvannyuma Dawudi n'alumwa omwoyo, kubanga yasala ku kirenge kya Sawulo.