1 Samuel 24:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ate oluvannyuma emmeeme Dawudi yamuluma olw'okusala ekirenge ky'omunagiro gwa Sawulo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’agamba abasajja be nti, “Kikafuuwe, nze okukola mukama wange ekintu ekifaanana bwe kityo, Mukama gwe yafukako amafuta, wadde okumugololerako omukono, kubanga Mukama yamufukako amafuta.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'agamba abasajja be nti, “Kikafuuwe nze okukola akabi konna ku mukama wange, Mukama gwe yafukako amafuta, okumugololera omukono gwange kubanga oyo Mukama gwe yafukako amafuta.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba basajja be nti: “Mukama ambeere, nneme kubaako kabi ke nkola ku mukama wange, Mukama gwe yafukako omuzigo. Siteekwa kumukolako kabi konna, kubanga y'oyo Mukama gwe yafukako omuzigo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba abasajja be nti Mukama akiddize eri nze okukola mukama wange Mukama gwe yafukako amafuta ekigambo kino, okumugololera omukono gwange kubanga ye oyo Mukama gwe yafukako amafuta.