1 Samuel 24:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agamba basajja be nti: “Omukama ansaasire! Kikafuuwe nze okukola ekifaanana kityo mukama wange, omusiige w'Omukama, oba okumugololera omukono, kubanga musiige wa Mukama.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ebigambo ebyo Dawudi n’aziyiza abasajja be n’atabakkiriza kulumba Sawulo. Awo Sawulo n’ava mu mpuku, n’agenda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'aziyiza abasajja be n'ebigambo ebyo, n'atabaganya kukola kabi konna ku Sawulo. Awo Sawulo n'agolokoka n'ava mu mpuku n'agenda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi n'aziyiza basajja be n'ebigambo ebyo, n'atabakkiriza kukola kabi ku Sawulo. Sawulo n'asituka, n'ava mu mpuku, n'agenda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n’aziyiza abasajja be n'ebigambo ebyo, n'atabaganya kumugolokokerako Sawulo. Awo Sawulo n'agolokoka n'ava mu mpuku n’agenda.