1 Samuel 24:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ebigambo ebyo Dawudi n'akoma ku basajja be, n'atabakkiriza kusitukira mu Sawulo. Sawulo bwe yavaayo mu mpuku n'ayongera olugendo lwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma, Dawudi naye n’afuluma empuku, n’akoowoola Sawulo ng’ayogera nti, “Mukama wange kabaka!” Awo Sawulo n’akyuka n’atunula emabega, Dawudi n’avuunama n’akka wansi ne yeeyala ku ttaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluvannyuma ne Dawudi n'asituka n'ava mu mpuku n'akoowoola Sawulo ng'agamba nti, “ Mukama wange kabaka!” Awo Sawulo bwe yakebuka, Dawudi n'avuunama amaaso ge ne yeeyanza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oluvannyuma ne Dawudi n'asituka n'ava mu mpuku, n'akoowoola Sawulo nti: “Mukama wange, kabaka!” Awo Sawulo bwe yakyuka, Dawudi n'amuvuunamira ku ttaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne Dawudi n'agolokoka oluvannyuma n'ava mu mpuku n'akoowoola Sawulo ng'ayogera nti Mukama wange kabaka. Awo Sawulo bwe yakebuka, Dawudi n'avuunama amaaso ge ne yeeyanza.