1 Samuel 24:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi naye n'asituka n'afuluma empuku, n'akoowoola Sawulo nti: “Mukama wange kabaka.” Sawulo n'akebuka emabega; Dawudi n'akutama wansi ku maaso ge ku ttaka, n'amuvunnamira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’agamba Sawulo nti, “Lwaki owuliriza eŋŋambo z’abantu aboogera nti, ‘Dawudi amaliridde okukukola akabi?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'agamba Sawulo nti, “Kiki ekiwulizisa ebigambo by'abantu nga boogera nti, ‘Laba, Dawudi ayagala okukukolako akabi?’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'agamba Sawulo nti: “Lwaki owuliriza abantu abagamba nti njagala okukukolako akabi?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'agamba Sawulo nti Kiki ekikuwuliza ebigambo by'abantu nga boogera nti Laba, Dawudi ayagala okukukola akabi?