1 Samuel 25:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Samweli n'afa; Yisirayeli yenna n'akuŋŋaana, ne bamukungubagira, ne bamuziika mu maka ge e Rama. Dawudi n'asitula, n'akkirira mu ddungu ly'e Mawoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Samwiri n’afa, Isirayiri yenna ne bakuŋŋaana okumukungubagira. Ne bamuziika ewuwe e Laama. Awo Dawudi n’avaayo n’aserengeta mu ddungu Palani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Samwiri n'afa; Abaisiraeri bonna ne bakuŋŋaana ne bamukaabira, ne bamuziika mu nnyumba ye e Laama. Dawudi n'asituka n'aserengeta mu ddungu lya Palani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Samweli n'afa. Abayisirayeli bonna ne bakuŋŋaana wamu okumukungubagira, ne bamuziika mu maka ge e Raama. Awo Dawudi n'asituka n'aserengeta mu ddungu ly'e Parani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Samwiri n'afa; Isiraeri yenna ne bakuŋŋaana ne bamukaabira, ne bamuziika mu nnyumba ye e Laama. Dawudi n'agolokoka n'aserengeta n'agenda mu ddungu Palani.