1 Samuel 25:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nabali n'ayanukula abaweereza ba Dawudi nti: “Dawudi ye ani oyo? Mutabani wa Yesse ye ani oyo? Ennaku zino abaweereza abatoloka ku bakama baabwe beeyongedde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nabali n’addamu abaweereza ba Dawudi nti, “Dawudi oyo ye ani? Mutabani wa Yese oyo ye ani? Ennaku zino abaweereza bangi badduka ku bakama baabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Nabali n'addamu abaddu ba Dawudi ng'agamba nti, “Dawudi ye ani? Ne mutabani wa Yese ye ani? Mu biro bino waliwo abaddu bangi abajeemera bakama babwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Nabali n'addamu abaweereza ba Dawudi ng'agamba nti: “Dawudi ye ani? Mutabani wa Yesse ye ani? Mu biro bino, waliwo abaddu bangi abadduka ku bakama baabwe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Nabali n'addamu abaddu ba Dawudi n'ayogera nti Dawudi ye ani? ne mutabani wa Yese ye ani? mu biro bino wabaawo abaddu bangi abajeemera buli muntu mukama we.