1 Samuel 25:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nzirire emigaati gyange n'amazzi gange n'ennyama ey'omu magana gye nattidde abamwa endiga zange ebyoya mpe abasajja be simanyi na gye bava?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnyinza ntya okuddira emigaati gyange, n’amazzi, n’ennyama bye ntekeddeteekedde abasajja bange abasala ebyoya ne mbiwa be sirina kye mbamanyiiko?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno ntole emigaati gyange n'amazzi gange n'ennyama yange gye nzitidde abasajja bange abasala ebyoya, mbiwe abasajja be ssimanyiiko gye bavudde?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kale nzirire emigaati gyange, n'amazzi gange, n'ennyama gye nzitidde basajja bange abasala ebyoya, mbiwe abantu be simanyiiko gye bavudde?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno nnaatoola emigaati gyange n'amazzi gange n'ennyama yange gye nzitidde abasajja bange abasala ebyoya, ne mbiwa abasajja be ssimanyiiko gye bavudde?