1 Samuel 25:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Dawudi n'agamba basajja be nti: “Buli omu yeesibe ekitala kye.” Buli omu ne yeesiba ekitala kye; ne Dawudi ne yeesiba ekikye, ne bagoberera Dawudi, abasajja nga bikumi bina; ebikumi ebibiri ne basigala ku migugu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’agamba abasajja be nti, “Mwesibe buli muntu ekitala kye!” Buli omu ku bo ne yeesiba ekitala kye, ne Dawudi ne yeesiba ekikye, abasajja nga bikumi bina ne bayambuka ne Dawudi, ebikumi bibiri ne basigala nga bakuuma eby’okukozesa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'agamba abasajja be nti Mwesibe buli muntu ekitala kye. Ne beesiba buli muntu ekitala kye; ne Dawudi naye ne yeesiba ekitala kye: ne wayambuka okugoberera Dawudi abasajja nga bina (400) ne bagoberera Dawudi; ebibiri (200) ne basigala ku bintu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'agamba abasajja be nti: “Mwesibe buli omu ekitala kye!” Buli omu ne yeesiba ekitala kye. Ne Dawudi ne yeesiba ekikye. Abasajja ng'ebikumi bina ne bagoberera Dawudi. Ebikumi ebibiri ne basigala okukuuma ebintu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'agamba abasajja be nti Mwesibe buli muntu ekitala kye. Ne beesiba buli muntu ekitala kye; ne Dawudi naye ne yeesiba ekitala kye: ne wayambuka okugoberera Dawudi abasajja nga bikumi bina; ebikumi ebibiri ne basigala ku bintu.