1 Samuel 25:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omu ku baweereza n'abuulira Abigayili muka Nabali nti: “Dawudi yayimye mu ddungu n'asindika ababaka balamuse ku mukama waffe, naye ye n'abakkako kubavuma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omu ku baddu ba Nabali n’agamba Abbigayiri mukyala wa Nabali nti, “Dawudi yatuma ababaka ng’ali mu ddungu okulamusa mukama waffe naye n’abavuma;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye omu ku balenzi n'abuulira Abbigayiri mukazi wa Nabali ng'ayogera nti, “Laba, Dawudi yatuma ababaka ng'ayima mu ddungu okulamusa mukama waffe; naye ye n'abavuma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omu ku baweereza ba Nabali, n'agamba Abigayili muka Nabali nti: “Waategedde? Dawudi yatumye ababaka abaavudde gy'ali mu ddungu okulamusa mukama waffe, naye ye n'abavuma,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye omu ku balenzi n'abuulira Abbigayiri mukazi wa Nabali ng'ayogera nti Laba, Dawudi yatuma ababaka ng'ayima mu ddungu okulamusa mukama waffe; n'abagwako.