1 Samuel 25:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso nno abantu bano baatuyamba nnyo; sibaatutawaanya; tewali na kimu kyatubulako obudde bwonna bwe twaba nabo mu ddungu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ate nga abasajja abo baali ba kisa nnyo gye tuli, era tebalina kabi ke baatukola newaakubadde okubuza ekintu n’ekimu ku bintu byaffe bwe twali mu ddungu nabo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abasajja abo baatukolanga bulungi nnyo, so tetukolwanga bubi, so tetubulwanga kintu kyonna ebbanga lyonna lye twabeera nabo mu nsiko;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
sso ng'abasajja abo baatuyisa bulungi nnyo. Tetwatuukibwako kabi, era tetulina kintu na kimu kyatubulako ekiseera kyonna kye twamala nabo ku ttale.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abasajja abo baatukolanga bulungi nnyo, so tetukolwanga bubi, so tetubulwanga kintu kyonna ebbanga lyonna lye twamala nga tubeera nabo, bwe twali mu nsiko: