1 Samuel 25:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwekyo, wekkaanye, lowooza ky'onookola, kubanga akabi kaleebaleeba okugwira mukama waffe n'ennyumba ye yonna. Ate ye muntu mubi; tewali asobola kwogera naye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano kifumiitirizeeko, olabe ky’oyinza okukola, kubanga akabi kajjidde mukama waffe n’ennyumba ye yonna. Musajja atabuulirirwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno kaakano tegeera, olowooze ky'onookola; kubanga abantu bali bamaliridde okukola mukama waffe ne nnyumba ye yonna akabi, kubanga omuntu owe kkabyo bwatyo nga mukama waffe, tayinza kuwuliriza muntu yenna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nno kaakano osaanidde omanye era olowooze ky'onookola, kubanga bamaliridde okukola akabi ku mukama waffe ne ku b'omu nnyumba ye bonna. Omuntu omubi eyenkanidde awo, tewali ayinza kwogera naye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno kaakano tegeera olowooze ky'onookola: kubanga bamaliridde obubi ku mukama waffe ne ku nnyumba ye yonna: kubanga omwana wa Beriali eyenkanidde awo n'okuyinza omuntu n'atayinza kwogera naye.