1 Samuel 25:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
E Mawoni waaliyo omusajja ng'alina eby'obugagga e Karumeli, nga mugagga nnyo; yalina endiga enkumi ssatu n'embuzi lukumi. Mu bbanga eryo yali amwa endiga ze ebyoya e Karumeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu biro ebyo waaliwo omusajja omugagga ennyo mu Mawoni eyalina eby’obugagga e Kalumeeri. Yalina endiga enkumi ssatu n’embuzi lukumi. Byali biseera bya kusala byoya eby’endiga ze, e Kalumeeri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo yaliyo omusajja e Mawoni nga eby'obugagga bwe biri e Kalumeeri; omusajja oyo yali mugagga nnyo, yalina endiga enkumi ssatu (3,000) n'embuzi lukumi (1,000), yali ng'asala ebyoya by'endiga ze e Kalumeeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
E Mawoni waaliyo omusajja, ng'emirimu gye agikolera Karumeeli. Omusajja oyo yali mugagga nnyo, ng'alina endiga enkumi ssatu, n'embuzi lukumi. Yali ng'asala ebyoya by'endiga ze e Karumeeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo yaliyo omusajja e Mawoni ebintu bye nga biri e Kalumeeri; era omusajja oyo yali mukulu nnyo, era yalina endiga enkumi ssatu n'embuzi lukumi: awo yali ng'asala ebyoya by'endiga ze e Kalumeeri.