1 Samuel 25:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yali ali ku ndogoyi ye ng'aserengeta mu kikko ky'olusozi, Dawudi ne basajja be nabo baali baserengeta gy'ali, n'abasisinkana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe yali yeebagadde endogoyi ye, n’ayita kumpi n’olusozi nga lumukweka. N’asisinkana Dawudi n’abasajja be nabo nga baserengeta okumwolekera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abbigayiri bwe yali nga yeebagadde endogoyi, aserengeta ng'aweta ku nsonda y'olusozi, amangwago Dawudi ne basajja be ne baserengeta okumwolekera, n'asisinkana nabo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abigayili bwe yali nga yeebagadde endogoyi, aserengeta ng'aweta mu kasonda k'olusozi, amangwago Dawudi ne basajja be ne baserengeta okumwolekera, n'asisinkana nabo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka nga yeebagala endogoyi ye n'aserengeta awaali ekifo ekyekwekerwamu eky'oku lusozi, awo, laba, Dawudi n'abasajja be ne baserengeta okumwolekera; n'asisinkana nabo.