1 Samuel 25:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi yali agamba nti: “Wamma namala biseera okukuumira ono ebintu mu ddungu n'atabulwako na kimu ku bibye. Ekirungi akinzirizzaamu na kibi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi yali yakamala okwogera nti, “Nakuumira bwereere ebintu byonna eby’omusajja ono bwe byali mu ddungu ne wataba na kimu ekyabula; bw’atyo bw’ansasudde, obubi olw’obulungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Dawudi yali ayogedde nti, “Mazima nnakuumira bwereere ebintu byonna olusajja luno bye lulina mu ddungu, ne watabula kintu kyonna, kyokka kati mu bulungi lunsasuddemu obubi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi yali amaze okugamba nti: “Mazima nakuumira bwereere ebintu by'omusajja oyo byonna, bye yalina mu ddungu, ne watabulawo wadde ekimu? Kale ye ansasudde bibi mu birungi bye namukolera?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Dawudi yali ayogedde nti Mazima nkuumidde bwereere byonna olusajja luno bye lulina mu ddungu, ekintu kyonna ne kitabula ku byalwo byonna bwe byenkana: kale lunsasudde obubi olw'obulungi.