1 Samuel 25:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda akole bw'atyo Dawudi n'abalabe be bonna, ate asinze nawo, singa we bunaakeerera nnaaba nkyaleseewo ayitibwa omusajja n'omu mu bonna b'alina.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale Katonda akole bw’atyo abalabe ba Dawudi n’okukirawo, enkeera bwe wanaabaawo omusajja we n’omu anaasigala nga mulamu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nze Dawudi, Mukama ambonereze n'obukambwe, singa we bunaakeerera, nnaaba ndeseewo omusajja, wadde omwana ow'obulenzi mu bantu be bonna b'alina.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze Dawudi, Mukama ambonereze n'obukambwe, singa we bunaakeerera, nnaaba ndeseewo omusajja, wadde omwana ow'obulenzi mu bantu be bonna b'alina.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda akole bw'atyo abalabe ba Dawudi n'okukirawo, bwe ndisigazaawo ku babe bonna bwe benkana n'omwana omu ow'obulenzi.