1 Samuel 25:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abigayili bwe yalaba Dawudi, n'ayanguwa, n'ava ku ndogoyi n'agwa wansi ku maaso ge mu maaso ga Dawudi, n'avunnama ku ttaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abbigayiri bwe yalengera Dawudi, n’ayanguwa okuva ku ndogoyi ye, n’avuunama mu maaso ga Dawudi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abbigayiri bwe yalaba Dawudi, n'ayanguwa n'ava ku ndogoyi ye n'avuunama mu maaso ga Dawudi, n'akutama okutukira ddala ku ttaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abigayili bwe yalaba Dawudi, n'ayanguwa n'ava ku ndogoyi, n'avuunamira Dawudi, n'akutama ku ttaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abbigayiri bwe yalaba Dawudi, n'ayanguwa n'ava ku ndogoyi ye n’avuunamira Dawudi amaaso ge, n'akutama ku ttaka.