1 Samuel 25:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agwa ku bigere bye n'agamba nti: “Mukama wange omusango gusinze nze; nkwegayiridde omuzaana wo leka ayogere gy'oli, wuliriza omuzaana wo ky'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’agwa ku bigere bye n’ayogera nti, “Mukama wange omusango gubeere ku nze nzekka. Nkwegayiridde leka omuweereza wo ayogere naawe; wuliriza omuweereza wo ky’anaayogera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agwa ku bigere bye n'ayogera nti, “Obutali butuukirivu obwo bubeere ku nze, kkiriza muzaana wo ayogere gyoli, nkwegayiridde owulirize ebigambo by'omuzaana wo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agwa ku bigere bya Dawudi, n'agamba nti: “Mukama wange, omusango ogwo gube ku nze, ddala gube ku nze. Era kkiriza omuweereza wo kye ŋŋamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agwa ku bigere bye n'ayogera nti Obutali butuukirivu obwo bubeere ku nze mukama wange, ku nze: era muzaana wo ayogere mu matu go, nkwegayiridde, era wulira ebigambo by'omuzaana wo.