1 Samuel 25:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mazima Omukama nga mulamu, naawe ggwe ng'oli mulamu, ng'Omukama bwe yakuwonyezza okuyiwa omusaayi n'okuwoolera eggwanga n'emikono gyo gyennyini, abalabe bo n'abo abaagala okukukola akabi bafuuke nga Nabali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kale nno mukama wange, nga Mukama bw’ali omulamu, akubedde obutayiwa musaayi newaakubadde obutawalana ggwanga n’omukono gwo, era naawe bw’oli omulamu, abalabe bo, n’abo abakuyigganya bonna mukama wange babeere nga Nabali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno kaakano, mukama wange, nga Mukama bw'ali omulamu naawe nga bw'oli omulamu, kubanga Mukama akuziyizza okuyiwa omusaayi olwo kuwoolera eggwanga, kale nno abalabe bo n'abo abagala okukolako akabi mukama wange babonerezebwe nga Nabali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kaakano mukama wange, Mukama akuwonyezza okuyiwa omusaayi, n'okuwoolera eggwanga. Kale nno, nga Mukama bw'ali omulamu, era nga naawe bw'oli omulamu, abalabe bo, n'abo abaagala okukukolako akabi, mukama wange, babonerezebwe nga Nabali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno kaakano, mukama wange nga Mukama bw'ali omulamu naawe nga bw'oli omulamu, kubanga Mukama akuziyizza okuzza omusango gw'omusaayi n'okwewalanira eggwanga n'omukono gwo ggwe, kale nno abalabe bo n’abo abanoonyeza mukama wange akabi, babe nga Nabali.