1 Samuel 25:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nkwegayiridde sonyiwa ensobi z'omuzaana wo. Kubanga Omukama ajja kukolera mukama wange ennyumba ennywevu, kubanga mukama wange alwana ntalo za Mukama Omuyinza; Mu ggwe nno muleme kusangibwamu nsobi ennaku zonna ez'obulamu bwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nkwegayiridde osonyiwe ekyonoono kw’omuweereza wo, era Mukama talirema kuzimbira mukama wange obwakabaka obw’enkalakkalira, kubanga mukama wange alwana entalo za Mukama. Waleme okulabika ekikolwa ekikyamu kyonna mu ggwe ennaku zonna ez’obulamu bwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nkwegayiridde, sonyiwa ekyonoono ky'omuzaana wo; kubanga Mukama talirema kukolera nnyumba ey'enkalakkalira, kubanga Mukama wange alwana entalo za Mukama; so n'akabi tekalirabika ku ggwe ennaku zo zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nkwegayiridde, nsoyiwa nze omuweereza wo, bye nsobezza. Mukama talirema kukuwa, ggwe mukama wange, bwakabaka bwa nkalakkalira kubanga ggwe, mukama wange, olwana entalo za Mukama. Era tebalikulabamu kibi obulamu bwo bwonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nkwegayidde, sonyiwa ekyonoono ky’omuzaana wo: kubanga Mukama talirema kukolera mukama nnyumba ey'enkalakkalira kubanga Mukama wange alwana entalo za Mukama; so n'akabi tekalirabika ku ggwe ennaku zo zonna.