1 Samuel 25:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bwe walisitukawo omuntu akuyigganya okukutta, obulamu bwa mukama wange buliba bukuumirwa wagumu mu nsawo y'obulamu n'Omukama Katonda wo. Naye obulamu bw'abalabe bo yennyini alibukanyuga eri ng'ejjinja bwe liva mu nsawo y'envuumuulo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bwe walibaawo omuntu yenna alikulumba okukuyigganya okutwala obulamu bwo, obulamu bwa mukama wange bukuumibwenga Mukama Katonda wo mu lulyo olw’abalamu. Naye obulamu bw’abalabe bo alibuvuumuula ng’ejjinja bwe liva mu nvuumuulo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era singa abantu bagolokoka okukuyigganya n'okwagala okukutta, obulamu bwa mukama wange bulisibirwa mu muganda gw'obulamu wamu ne Mukama Katonda wo; era obulamu bw'abalabe bo alibukasuka wala ng'envuumuulo bwe kasuka amayinja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Singa wabaawo asituka okukuyigganya, ng'ayagala okukutta, obulamu bwo, mukama wange, bujja kusibwa mu muganda gw'abalamu abali awamu ne Mukama Katonda wo, obulamu bw'abalabe bo Mukama abukanyuge, ng'omuntu bw'akanyuga amayinja ng'akozesa envuumuulo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era newakubadde ng'abantu bagolokose okukuyigganya n'okunoonya obulamu bwo, naye obulamu bwa mukama wange bulisibirwa mu muganda gw'obulanu wamu ne Mukama Katonda wo; n'obulamu bw'abalabe bo alibuvuumuula ng'ebiva mu lubuto lw'envuumuulo.