1 Samuel 25:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Erinnya ly'omusajja oyo nga ye Nabali, ate mukazi we ng'ayitibwa Abigayili. Omukazi yali mugezi ate ng'afaanana bulungi; naye bba, eyali Omukalebu, nga mukambwe era nga mukodo mu mpisa ze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Erinnya ly’omusajja ye yali Nabali, ne mukyala we nga ye Abbigayiri. Yali mukyala mutegeevu era nga mulungi, nga bw’omutunuulira alabika bulungi, naye bba Omukalebu, nga wa kkabyo kyokka nga mukalabakalaba mu mirimu gye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Erinnya ly'omusajja oyo nga ye Nabali; n'erya mukazi we nga ye Abbigayiri, Omukazi yali mutegeevu era nga mulungi mu ndabika ye. Naye bba, eyali ow'omu nnyumba ya Kalebu ye yali wa kkabyo, era nga mubi mu bikolwa bye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusajja oyo, yali ayitibwa Nabali, ne mukazi we, ng'ayitibwa Abigayili. Omukazi yali mutegeevu era nga mulungi mu ndabika ye. Naye bba, eyali ow'omu nnyumba ya Kalebu ye yali wa kkabyo, era nga mubi mu bikolwa bye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era erinnya ly'omusajja Nabali; ne mukazi we erinnya lye Abbigayiri: n'omukazi yali mutegeevu n'amaaso ge nga malungi: naye omusajja yali wa kkabyo era mubi mu bikolwa bye; era yali wa nnyumba ya Kalebu.