1 Samuel 25:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama bw'alimala okukolera mukama wange byonna bye yasuubiza ku ye, ng'akutaddewo ng'omukulembeze wa Yisirayeli,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama bw’alikolera mukama wange ebirungi byonna bye yamusuubiza, era n’amufuula okuba omukulembeze wa Isirayiri,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olulituuka Mukama bw'aliba ng'atuukiriza byonna ebirungi byeyayogera ku mukama wange, era nga akutaddewo okuba omukulu wa Isiraeri;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama bw'alimala okukukolera ebirungi byonna bye yakusuubiza ggwe, mukama wange, n'akufuula kabaka wa Yisirayeli,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka Mukama bw'aliba ng'akoze mukama wange ng'obulungi bwonna bwe buli bwe yakwogerako era ng'akutaddewo okuba omukulu wa Isiraeri: