1 Samuel 25:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
toliba na mmeeme ekubagana oba ekuluma nti ate wayiwa musaayi n'olw'okuwoolera eggwanga nga weewonya. Omukama bw'aliba awadde omukisa mukama wange, ojjukiranga omuzaana wo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
mukama wange talibeera na kulumirizibwa mu mutima olw’okuyiwa omusaayi awatali nsonga, wadde okwewalanira eggwanga. Era Mukama bw’alikukolera ebirungi mukama wange, ojjukiranga omuweereza wo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale mukama wange, tolibaako kikweraliikiriza wadde kikulumya mwoyo, olw'okuyiwa omusaayi awatali nsonga, oba mukama wange, olw'okuwoolera eggwanga. Era mukama wange, Mukama bw'aliba ng'akuwadde omukisa, kale onzijukiranga nze omuzaana wo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
olwo mukama wange, tolibaako kikweraliikiriza wadde kikulumya mwoyo, olw'okuyiwa omusaayi awatali nsonga, oba mukama wange, olw'okuwoolera eggwanga. Era mukama wange, Mukama bw'aliba ng'akuwadde omukisa, kale onzijukiranga nze omuweereza wo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale kino tekirikulumya mwoyo, so omutima gwange tegulyesittaza mukama wange kubanga wayiwa omusaayi ogutaliiko nsonga newakubadde kino nga mukama wange yeewalanira eggwanga yekka: awo Mukama bw'aliba ng'akoze bulungi mukama wange, kale ojjukiranga omuzaana wo.