1 Samuel 25:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mazima Omukama Katonda wa Yisirayeli nga mulamu, anziyizza okukola akabi, toba kwanguwa kujja kunsisinkana, we bwandikeeredde wandibadde nga tewakyali ayitibwa musajja Nabali gw'asigazizza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga mazima ddala nga Mukama Katonda wa Isirayiri bw’ali omulamu, ambedde obutakukolako kabi, singa toyanguye kujja kunsisinkana, tewandibadde musajja n’omu owa Nabali eyandiwonyeewo, obudde we bwandikeeredde enkya.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mazima ddala, nga Mukama Katonda wa Isiraeri bw'ali omulamu, anziyizza okukola obubi, singa toyanguye n'ojja okusisinkana nange webwandikeredde wandibadde tewasigadde musajja wadde omwana ow'obulenzi mu bantu ba Nabali.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nga Mukama, Katonda wa Yisirayeli anziyizizza okukukolako akabi, bw'ali omulamu, mazima ddala singa toyanguye n'ojja okusisinkana nange, we bwandikeeredde wandibadde tewasigadde musajja wadde omwana ow'obulenzi, mu bantu ba Nabali.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mazima ddala, nga Mukama Katonda wa Isiraeri bw'ali omulamu, anziyizza okukola obubi, singa toyanguye n'ojja okusisinkana nange, mazima tewandisigalidde Nabali emmambya ng'esaze omwana omu ow'obulenzi.