1 Samuel 25:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abigayili n'addayo ewa Nabali. Yasanga akoze embaga ewuwe mu nnyumba ng'eri ng'eya kabaka. Nabali yali acamuse, ng'atamidde nnyo; Abigayili n'atamubuulira kantu konna okutuusa enkeera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abbigayiri bwe yaddayo eri Nabali, n’amusanga ng’ali mu nnyumba, era ng’akoze embaga, ng’eya kabaka. Yali asanyuukiridde nnyo, era ng’atamidde, kyeyava tamunyega ku olwo, okutuusa enkeera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abbigayiri n'addayo eri Nabali; Nabali yali afumbye embaga mu nnyumba ye, eyali nga eya kabaka. Yali ng'atamidde nnyo era nga musanyufu, Abbigayiri kyeyava tabaako ky'amubuulira okutuusa enkeera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abigayili n'addayo eri Nabali. Nabali yali afumbye embaga nnene mu nnyumba ye, embaga eyo ng'eri ng'eya kabaka. Yali ng'atamidde nnyo era nga musanyufu, Abigayili kyeyava tabaako ky'amubuulira okutuusa enkeera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abbigayiri n'ajja eri Nabali; era, laba, yali afumbye embaga mu nnyumba ye, ng'embaga ya kabaka; n'omwoyo gwa Nabali gwali gusanyuse munda mu ye, kubanga yali atamidde nnyo: kyeyava alema okumubuulira ekigambo kyonna, oba kitono oba kikulu, okutuusa enkya.