1 Samuel 25:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku makya, Nabali ng'evviini emwamuseeko, mukazi we n'amubuulira; omutima ne gumufa muli, n'akalambala ng'ejjinja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe bwakya, Nabali omwenge nga gumuweddeko, mukyala we n’amutegeeza ebigambo ebyo byonna, naye omutima gwe ne gukakanyala, ne guba ng’ejjinja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka enkya, Nabali omwenge bwe gwali gumuweddeko, Abbigayiri n'amubuulira ebigambo byonna, omutima gwe ne gutyemuka munda ye n'akalambala ng'ejjinja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo enkeera Nabali omwenge bwe gwamwamukako, Abigayili n'amubuulira byonna. Nabali n'akalambala n'afuuka ng'ejjinja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka enkya, Nabali omwenge bwe gwali gumuvuddeko, mukazi we n'amubuulira ebigambo ebyo, omutima gwe ne gufiira munda ye n'afuuka ng'ejjinja.