1 Samuel 25:39 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi bwe yawulira nga Nabali afudde, n'agamba nti: “Omukama agulumizibwe alamudde ensonga yange ey'okunyooma Nabali kwe yannyoomamu; awonyezza omuweereza we okukola ekibi, ekibi kya Nabali Omukama n'akizza ku mutwe gwe.” Awo Dawudi n'atuma ewa Abigayili n'amusaba abeere mukazi we.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi bwe yawulira Nabali ng’afudde, n’ayogera nti, “ Mukama yeebazibwe anwaniridde, Nabali olw’obubi bwe yankola. Mukama ambedde, era akuumye omuweereza we obutakola kikyamu, n’ateeka ebikolwa bya Nabali ebibi ku mutwe ggwe.” Awo Dawudi n’atumira Abbigayiri, n’amusaba afuuke mukazi we ng’amusaba okumuwasa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi bwe yawulira nga Nabali afudde, n'agamba nti, “Mukama atenderezebwe, awooledde eggwanga ku Nabali eyanvuma, era aziyizza nze omuweereza we okukola ekibi. Mukama abonerezza Nabali olw'ekibi kye.” Awo Dawudi n'atumira Abbigayiri ng'amusaba amuwase.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi bwe yawulira nga Nabali afudde, n'agamba nti: “Mukama atenderezebwe, awooledde eggwanga ku Nabali eyanvuma, era aziyizza nze omuweereza we okukola ekibi. Mukama abonerezza Nabali olw'ekibi kye.” Awo Dawudi n'atumira Abigayili ng'amusaba bafumbiriganwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi bwe yawulira Nabali ng'afudde, n'ayogera nti Mukama atenderezebwe, awozezza ensonga ey'okuvumibwa kwange mu mukono gwa Nabali era aziyizza omuddu we okukola ekibi: n'obubi bwa Nabali Mukama abuzzizzaayo ku mutwe gwe ye. Dawudi n'atuma n'ayogereza Abbigayiri okumufumbirwa.