1 Samuel 25:41 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'asituka n'avunnama ku maaso ge ku ttaka, n'agamba nti: “Nzuuno omuzaana wo, neetegese okukuweereza n'okunaaza ebigere by'abaddu ba mukama wange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’avuunama amaaso ge n’ayogera nti, “Laba omuweereza wo mweteefuteefu okunaazanga ebigere by’abaweereza ba mukama wange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abbigayiri n'asituka n'avuunama ku ttaka, n'agamba nti, “Nzuuno omuzaana wo, nneetegese okunaazanga ebigere by'abaweereza ba mukama wange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abigayili n'asituka n'avuunama ku ttaka, n'agamba nti: “Nzuuno omuweereza wo, neetegese okunaazanga ebigere by'abaweereza ba mukama wange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'agolokoka n'avuunama amaaso ge n'ayogera nti Laba, omuzaana wo abe muweereza okunaazanga ebigere by'abaddu ba mukama wange.